Ssekitooleko awadde omubaka Akol nsaleesale w’okumwetondera

Omubaka w’e Nakifuma mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga, Eng. Kafeero Ssekitooleko awadde mubaka munne Anthony Akol akiikirira essaza ly’e Kilak mu Disitulikiti y’e Amuru  nsaleesale wa ssaawa 48 zokka aveeyo amwetondere mu lujjudde era amenyewo ne byeyayogera ebigambibwa nti baagulirira ababaka  mu Palamenti nga babawa ensawo za ssukaali bawagire ebbago ly’etteeka eriggya ekkomo ku myaka gy’abakozi ba Gavumenti . 

 

Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko Omubaka Kafeero Sekitooleko yaleeta mu Palamenti ekiteeso ng’ayagala wabeewo ennongoosereza mu bbago ly’etteeka eriggya ekkomo ku bakoz ba Gavumenti omuli abalamuzi , abasawo n’abalala ekintu ababaka abamu kyebaalayira okusimbira okkuuli ssaako n’okuwanyisiganya ebisongovu nga bagamba nti kino kigenderera kuggya kkomo ku myaka gya mukulembeze wa ggwanga .

Omubaka Ssekitooleko agamba nti Akol bw’atakola kino enkalu zaakunoonya obukongovule .

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply