Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 288 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

RDC alagidde abatuuze okukambuwalira ba nannyini ttaka ababagoba ku ttaka

July 11, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka wa Pulezidenti mu ssaza ly’e Buweeekula , Maj. Joseph Kakooza akunze banna Buweekula n’abatu b’e Mubende okuvaayo okutandika okulaga obukambwe ku bannannyini ttaka abagufudde omugano okubagobaganya ku ttaka e Mubende.

Kakooza agamba nti singa abatuuze tebavaayo kutandika kulwanyisa bagagga ababagoba ku ttaka, abantu batandise okufuuka abagwira wano mu nsi yaabwe.ย 

Ono okwogera bino abadde asisinkanye abatuuze abasukka mu 4000 abagobwa ku ttaka okuva ku byalo nga abasisinkanye ย ku kyalo Nakaladde ekisangibwa mu muluka gw’e Kabulamuliro ne Kasambya mu ggombolola y’e Madudu mu Disitulikiti Mubende