Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 456 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ssekiboobo omuggya atuuziddwa

February 15, 2020 · Mubiru Ali

Omwami w’Essaza Kyaggwe omuggya Ssekiboobo Elijah Bogere atuuziddwa mu butongole ku bukulu buno ku mukolo ogubadde ku mbuga y’essaza mu ggulu e Mukono mu Kyaggwe.

Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi era avunaanyizibwa ku mbiri, Owek David Kyewalabye Male kulwa Katikkiro yakoze omukolo gw’okumutuuza.

Ssekiboobo atuuziddwa wamu n’abamyukabe David Matovu ne Richard Luswata.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki yakulembeddemu omukolo gw’okutuuza.