BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

ab’e Lusanja badiziddwa ettaka lyabwe

Abatuuze abasengulwa mu Lusanja eMpererwe bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Kkooti enkulu evunaanyizibwaku nsonga z’ettaka bwevuddeyo netegeeza baddeyo ku ttaka lyabwe. Omulamuzi John Eudes Keitirima asazizaamuekiragiro ekyayisibwa omulamuzi omukulu ow’e Nabweru nga kigoba abantu abasobamu 500 ku ttaka eriweza hectares 3.89 nga liweebwa omusuubuzi  Medard Kiconco. Okusinziira ku Mulamuzi Keitirima,agamba nti Omulamuzi w’e Kkooti y’e Nabweru Esther Nasambu teyayina buyinzakuwulira musango gusussa nsimbi za Yuganda obukadde 50 nga gino girinakuwulirwa Kkooti nkulu yokka. Ettaka lino Kiconco lyagamba ntilirye lyali lyakuteekebwako enkulaalana ya bukadde 200 okusinziira kubiwandiiko ebyayisibwa KCCA. Omulamuzi Keitirima era anenyezzaomulamuzi Nasambu olw’obutatuuka ku ttaka lyali likayanirwa nga tasalawo kikiekiyinza okukolebwa. Kkooti enkulu era ekitegeddeko ntiabantu bano basengulwa nga tebaweereddwa Summons okusobola okuwaayo okwewozaakokwabwe nga balaga ebiwandiiko ebyoleka obwannanyini ku ttaka mu kkooti.Okusinziira ku Kkooti Summons zaweebwa Ssentebe wa LC1 y’e Ssekanyonyi HenerySsejjemba so nga ate okusengulwa kwakolebwa mu Lusanja abataali mu musango. Omulamuzi abaddiza ettaka lyabwe wabulan’abategeeza nti bwebaba baagala okuliyirirwa ennyumba zaabwe ezamenyebwan’ebintu byabwe ebyayonoonwa balina kuwaaba musango mulala.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply