Pulezidenti Museveni tanagemebwa COVID-19 – Minisita Aceng

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Oceroavuddeyo olunaku olwaleero ku byafulumidde mu lupapula lwa mawulire nga lutegeeza nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveniwamu n’abantu be abokulusegere bwebafunye eddagala eribagema ekirwadde kya #COVID-19 okuva mu Kkampuni ya Gavumenti ya China eya Sinopharm.
Minisita agamba nti ku lwa Minisitule y’ebyobulamu wamu ne Gavumenti ya Yuganda teriiyo muntu yenna ali ku lusegere lwa Pulezidenti kabe Pulezidenti Museveni yagameddwa kirwadde kya #COVID-19 nga amawulire bwegawandiise nti era gagezaako kuwubisa Bannayuganda bonoona erinnya lya Pulezidenti.
Minisita agamba tewali ddagala lyatuuse mu Yuganda nti era ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Yuganda ekya

Uganda National Drug Authority

kyakakasa era nekiwandiika ekika ky’eddagala limu lyokka erya AstraZeneca okukozesebwa mu Yuganda nti era NDA ekyali mu nteekateeka ewandiisa eddagala eddala.

Minisita asabye Bannamawulire okusooka okwebuuza ku b’obuyinza bekikwatako bakakase byebaba bafunye nga tebanabiwa Bannayuganda.
Kinnajukirwa nti Pulezidenti Museveni yasisinkanye abakungu okuva mu China okuli; H.E Yang Jiechi, Member of the Political Bureau of the Central Committee of the Communist Party of China, ku lwa Pulezidenti Xi Jinping ku Sunday nga 21-Feb-2021.
Share.

Leave A Reply