Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 400 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Pulezidenti Museveni asonyiye aba Red Pepper

January 24, 2018 · Mubiru Ali

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asonyiye abaddukanya awamu n'abakungaanya b'olupapula lw'amawulire olwa Red Pepper era nga kati bagenda kuggulawo okutandika okukola. 

Yafeesi za Red Pepper zaggalwawo emyezi ebiri emabega era nga zibadde zebulunguluddwa Police okumala ebbanga eryo wabula nga kati Pulezidenti Museveni alagidde ezaamuke .

Ekitebe kya Red Pepper  kyazingibwako ab'ebyokwerinda olw'okuvumirira Gavumenti wabula akawungeezi akayise,  abakulira olupapula luno beevumbye akafubo ne Pulezidenti Museveni mu makage e Ntebe nebatuuka ku nzikiriziganya. 

Kinajjukirwa nti Police nga ekulirwamu omuduumizi waayo mu Kampala n'emiriraano, Frank Kwesiga, mu Museenene nga 21 omwaka oguwedde yazingako ekitebe kya Red Pepper ekisangibwa e Namanve era n'eyoola bekikwatako abawerera ddala munaana.