Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yakirizza ekiteeso ekyayisiddwa Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM ekyokukwatira ekibiina kino bbendera nga anavuganya ku kalulu k’obwa Pulezidenti mu kalulu ka 2021.
Museveni yeebazizza Bannakibiina abali mu lusirika e Kyankwanzi olw’okumusaamu obwesige ebbanga lyonna mu lugendo luno olulina ekigendererwa.
Pulezidenti Museveni yagambye nti; “Ndi musanyuffu nnyo olw’obwesige bwemuntaddemu olwokuba nkyalina amaanyi era nga mubonna nze nkyakira mukumanya olugendo luno lwetulimu, era mbakakasa nti nzikirizza okukwata bbendera eno.’

Menu