Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 224 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Nubian Li tabangako wafujjo – Fik Fameica

April 18, 2021 · Mubiru Ali
#NdowoozaYaMunnayuganda https://youtu.be/MWhCRghAGUg
NUBIAN LI TABANGAKO WAFFUJJO: https://youtu.be/BY27giT9q_E
Omuyimbi Walukagga Shafik aka Fik Fameica; “Abakulembeze baffe, tubebaza nnyo olwebyo byemusobodde okukola okulaba nti Yuganda egenda mu maaso n’abantu baayo.
Mukoze ng’ekyokulabirako eri abavubuka bangi okuyimusa amaloboozi gaabwe wamu n’okukolera eggwanga lyabwe akadde konna webafunira omukisa era nsuubira n’abakulembeze baffe batwenyumirizaamu kuba abazzukulu baabwe basobodde okuteeka mu nkola ebiruubirirwa byabwe, bino byonna tubiyigidde ku mmwe.
Ku lwabavubuka banange abatwalibwa okubeera abeffujjo, abakulembeze baffe tubetondedde nnyo, twabalumya naye mujjukire nti bino byonna tubiyigidde ku mmwe okuvaayo okubanja ebyaffe mu mirembe olwensonga eyawamu era nga mwakikola emabegako ffe okusobola okubaawo era naffe abavubuka kyetugezaako okukola mu mirembe wadde temutuganyizza yadde okutandika.
Abavubuka si baffujjo, wabula bakimanyi nti bingi bisobola okukolebwa singa begattira wamu okusobola okutumbula obulamu bwabonna.
Okwenyigira mu nkulaakulana y’eggwanga lyange tekitegeeza nti ndi wafujjo, wabula njagala eggwanga lyange likule nga nange nenyigiddemu.
Waliwo obulimba obutambuzibwa ku bavubuka, ffenna tukimanyi Nubian li muyimbi akuumirwa mu kkomera ng’omuntu ow’effujjo, kino ffenna tukimanyi nti sikituufu. Tukimanyi bulungi nti ono muyimbi, nga kino kitundu ku byenfuna by’eggwanga ekiwa ebitundu 70 ku 100 eby’abavubuka emirimu abataalibadde nakyakukola.
Bannayuganda twogere tuwulirwe.
#BringBackOurPeople