Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mu kugezaako okutta Gen. Edward Katumba Wamala kwakoleddwa abatera okukikola benayise embizzi olunaku luli, nga kino kyalaze nti Uganda Police Force teyetegese. Kkamera enkettabikolwa zenateekawo zzo zakoze omulimu gwazo, lwaki abakola mu kkamera tebategeezezza aba Poliisi ennawunyi?
Abo bonna abenyigira mu kutta Bannayuganda wamu n’okugezaako okutta Gen. Katumba bagenda kukwatibwa kuba tulina wetutuuse. Lwaki omuntu asse omuntu ateebwa ku kakalu ka Poliisi, sikitegeera. Nga lwaki bamweyimirira? Ndagira Poliisi obutaddamu kukozesa masimu ga mungalo baddemu okukozesa radio call eziwulirwa buli Poliisi weeri basobole okwanukula amangu awetaagisa.”