Poliisi ezudde emmundu 2 ku 4 ezabbibwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi ezudde emmundu 2 ku ezo ennya ezabibwa okuva ku Poliisi ya Agoro mu Disitulikiti y’e Lamwo nga 17-09-2018. Emmundu ekika kya SMG yazuulwa nga 9-11-2018 oluvannyuma lw’ekikwekweto ekyakolebwa oluvannyuma lw’amawulire Poliisi geyafuna nti emmundu zino zaali mu maka ga Okimbo eyadduka.
Era bwebakola ekikwekweto nebazuula emmundu zino mu nnyumba ye esangibwa mu Westland Ward, Central Division mu Kitgum Municipality.
Ku byazuuliddwa kuliko UG POL 563619899-10849 ne UG POL 051487-07849, Magazine 3 nga zirimu amasasi 87, blue porch, obuccupa bwa tear gas bubiri, camera 4, emifaliso ne Radio 6 n’ebirala bingi. Poliisi yakutte mukyala we Apiyo Angel Harriet n’abalala okwabadde Ochola Sameul ne Ikwera Nono.

 

Share.

Leave A Reply