Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 286 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

abafiirwa abantu baabwe mu nnyonyi bandiriyirirwa

March 18, 2019 · Mubiru Ali

Ab’enganda z’abantu abafiira ku nnyonyi ya Ehtiopian Airlines ET 302 Boeing 737 Max 8 jetliner baatandise okudda okwabobwe oluvannyuma lwabakungu mu ggwanga lya Ehtiopia okugenda nabo mu kafubo. Kigambibwa nti ab’enganda z’abantu bonna abafiira ku nnyonyi eno bakuliyirirwa wakati w’obukadde 630 no 920 buli muntu wabula nga zino zijja kusinziira ku myaka, omulimu wamu n’ekifo kyabaalimu ku mirimu egyo nga bakyali balamu era nga kyakukolebwa mu myezi 18.
Wabula ensimbi zino zandisigawo singa okunoonyereza ku ki ekyaviirako ennyonyi eno okuggwa kizuulwa naddala singa kiba nti ennyonyi eno kyava kukubeera nti teyali mubeera nnungi oba ensobi mu nkola yaayo.
Kigambibwa nti okuliyirirwa kuno kwa kwesigamizibwa ku mitendera gy’ensi yonna egiyitwamu okuliyirirwa abo ababa balina abantu baabwe abafiiridde ku nnyonyi eyitibwa ‘Montreal Convention’.
Mr Kariuki Munyi, nga ono yafiirwa muwala eyali ku nnyonyi yategeezezza nti enkola eno eya ‘Montreal Convention’ ekola singa omusaabaze alumizibwa oba nafiira ku nnyonyi ngakivudde ku kintu kyonna ekiba kigiviiriddeko okufuna akabenje tekivudde kumusaabaze.