poliisi eziikudde emirambo 8 mussabo e luweero

Poliisi ezinze essabo ly’omusamize n’eziikula emirambo munaana nga kiteeberezebwa nti abantu bano baasaddaakibwa. Bino biri ku kyalo Kyakatula mu Ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero.
Omusamize eyazindiddwa ye Armstrong Nsubuga, poliisi gwe yakutte n’emuggalira okumubuuza ebikwata ku mirambo gye baggye ewuwe.
Okukwata Nsubuga kyaddiridde omwana omulenzi ayitibwa Moses Busobozi okubula okuva mu maka ga bakadde be n’okutuusa kati nga tamanyiddwako mayitire.
Busobozi yabula ku Lwakutaano lwa wiiki ewedde ng’abadde alindirira byava mu bigezo bya S4 bye yatuulira ku Kikandwa Community SS omwaka oguwedde.
Oluvannyuma lw’okunoonyeza ennaku eziwera ng’omwana abuze, ab’ekyalo baasazeewo okutegeeza poliisi ne bagisaba ejje mu kitundu eyaze amasabo ga Nsubuga okuzuula oba alina ky’amanyi ku by’okubula kw’omwana ono.
Poliisi yatuuse ku masabo ga Nsubuga ng’eri wamu n’abatuuze ne batandika okunoonyereza era bwe beetoolodde emabega w’erimu ku masabo ne balaba ekinnya ekyabadde kyakasimwa.
Baakitakuddemu ettaka era baagudde ku mulambo gwa musajja ogwalabise nti gwabadde gwakaziikibwa olunaku nga lumu emabaga.
Poliisi yaziikudde omulambo guno era kyazuuliddwa nti gwabadde gusaliddwako ebitundu eby’enjawulo okuli eby’ekyama, olulimi n’ebirala.
Oluvannyuma poliisi yazudde omulambo gw’omwana omuto nga gwabadde kuziikiddwa mu keesi.
Emirambo emirala gyabadde gyavunda nga gyasigala magumba era ebisigala byonna byakuηηanyiziddwa poliisi n’ebitwala okutandika okunoonyereza okuzuula ebikwata ku bantu bano, okugeza be baani, battibwa batya ne kalonda omulala abakwatako.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana, Paul Kangavve yategeezezza nti omulambo gw’omusajja gwe baasanze nga yaakaziikibwa baagututte e Mulago gukeberebwe era nga omusamize ajja kubuuzibwa annyonnyole ebikwata ku muntu ono n’engeri gye yafaamu.
Mu be baakutte abalala kwe kuli muk’omusamize n’omuntu omulala eyabadde ayamba Nsubuga ku mirimu mu masabo gano.
Wabula omwana w’essomero eyabula yabadde tannazuuka nga poliisi egenda mu maaso n’okumunoonya.
Ssentebe w’ekyalo Disan Kirabira yategeezezza nti omusamize ono yabadde yakamala ku kyalo emyaka musanvu kyokka nga talina kintu kyonna kye yali amuwuliddeko.
Wabula yagambye nti yewuunyizza okumusanga n’omulambo gw’omwana omuto ogwabadde mu kkeesi kubanga tawulirangako nti yafi iriddwa omwana.
Abatuuze bwe baalabye poliisi ng’etutte omusamize, ne bakkakkana ku masabo ge omwenda ne bagakumako omuliro ne gasaanawo. Baatutte na buli kintu kye baasobodde okukwatako engalo omwabadde engoye n’ebirala ebikalu ebiteeberezebwa okuba nti abalwadde baabadde akolako babadde babimuleetera ng’ebirabo.
Baategeezezza nti babadde balaba emmotoka ez’ebbeeyi nga zijja ku masabo ga Nsubuga era ng’oluusi mu mmotoka zino mubeeramu n’eziriko nnamba z’ebitongole bya Gavumenti nga kirabika nti bano bonna abantu babadde bamweyunira okubakolera ku bizibu byabwe.
Abamu ku batuuze bagamba nti emirundi mingi babaddenga bagenda ewa Nsubuga okulya ebijjulo byabaddenga ategeka buli kiseera era ewuwe wabadde tewaggwa mbuutu naddala ng’akyazizza abalwadde ab’amaanyi ababa bazze okusawulwa.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

19 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon