Poliisi eyise Bwanika annyonyole byeyayogera
Ssentebe wa Wakiso District Matia Lwanga Bwanika ayitiddwa okweyanjula ku kitebe kya CIID e Kibuli nga entabwe eva ku katambi keyalabikira nga ayombagana n’omusajja nga amulanga okulemera kukusima okusenyu okuva mu nnyanja nga ye agamba kyonoona obutonde bw’ensi. Ono avunaanibwa okwoleka obusosoze mu mawanga, okugezaako okukuba omuntu wamu n’okukuma omuliro mu bantu okukola effujjo wamu n’okwonoona ebintu. Ono asabiddwa okulabika mu maaso ga D/ASP Ndyamuhaki Bill.


