Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi etwala Rev. Mwesigwa mu Kkooti lwakwebuzaawo

Poliisi mu Kampala ekutte neggalira Rev. Isaac Solomon Mwesigwa ku bigambibwa nti yalimbalimba Poliisi nti yali awambiddwa abasajja ab’emmundu abamuvuga nebamusuula mu Disitulikiti y’e Soroti.Rev. Mwesigwa wakutwalibwa mu kkooti olunaku lw’enkya ku lw’okutaano okusinziira ku ayogerera CID Charles Twine. Ono abadde alina okutwalibwa mu Kkooti leero wabula nga ebadde nzigale era nga kati akuumirwa ku Poliisi ya Jinja Road.Rev. Mwesigwa yagamba nti yawambibwa abasajja ab’emmundu bweyali avuga emotoka ye okwolekera Uganda Christian University (UCU) e Mukono era nebamusuula ku St. Peter’s Cathedral mu Soroti ku ssaawa kumi ez’okumakya nga 12 – Feb oluvannyuma yayanirizibwa Archbishop wa Uganda Stanley Ntagali, eyali mu kitundu ekyo.Wabula Poliisi egamba nti yafunye akatambi ka Kkamera enkettabikolwa ezimulaga nga ava mu motoka ye nga tewali amulumbaganye.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort