Poliisi ereese ebiragiro ebipya ku by’okwerinda

Poliisi eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya. Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekirwanyisa abatujju, Abbas Byakagaba, ye yasoose okuyisa ebiragiro eri abaduumizi ba Poliisi zonna n’obubinja okubeera obulindaala.
Yalagidde abaduumizi bonna okusala amagezi okuziba ebituli mu byokwerinda abatujju bye basobola okuyitamu okukuba Uganda n’alagira bakolaganire wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala okuli UPDF, ISO, CMI n’eggye erikuuma Pulezidenti.
Byakagaba yalagidde okuwa obukuumi ku bifo byonna eby’olukale awakung’aanira abantu abangi, wooteeri, ebifo by’abalambuzi n’ebirala. Kuno, Poliisi yagasseeko okukuutira bannannyini bifo bino okunyweza ebyokwerinda nga bakebera buli muntu, emmotoka n’ebintu ebiyingizibwa mu bifo byabwe.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga mu kiwandiiko kye yaweerezza bannamawulire yagambye nti, ebifo omuli obutale, ebizimbe by’amaduuka, amabbaala n’ebirala omucakalirwa biteekeddwa okubeera n’obukuumi obumala.
Enanga yagasseeko nti, ekyaliwo mu 2010 abatujju lwe baalumba ne batta abantu e Kyaddondo ne Kabalagala, kyabawa essomo era Uganda ku ssaawa eno, esobodde okwezimba mu tekinologiya n’ebirala okwetangira abatujju.
Yagasseeko nti, baayungudde ebibinja by’abakugu okulaba awayinza okubeera ebituli. Eggulo, buli kifo eky’olukale olwakung’aanira abantu abangi, byabadde mu kaseera kazibu okuteeka mu nkola ebiragiro by’abakulira ebyokwerinda.
Ku bifo nga Garden City, ebyokwerinda byabadde gguluggulu, mmotoka zonna, zaabadde zikebererwa walako okuva ku ggeeti we ziyingirira. Abakuumi, baayongeddwaako okukebera buli mmotoka eyingira n’abantu abazirimu.
Mu bifo ebirala mu Kampala, poliisi n’amagye baakedde kulawuna nga bwebawa abakuumi ebiragiro obutakkiriza muntu kuyita ku miryango nga takebeddwa. Ebifo okuli Pioneer Mall, Acacia Mall, Mukwano Mall ne Arcade ebyokwerinda byabadde binywezeddwa. Mu bifo okuli akatale ka Owino, Kisekka, Kikuubo ne paaka, abaserikale baasindikiddwa okukuuma.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

69 4 instagram icon