Poliisi ennawunyi mu Kampala ekutte 3 nga bagezaako okumenya edduuka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi ennawunyi eya CPS mu Kampala ekutte abasajja basatu okuli; Abasa aka Duplicate , Sande Gerald ne Nyenso Magisibo bwebabadde bagezaako okumenya edduuka ku Ben Kiwanuka Street mu Kampala mu kiro ekikeesezza olwaleero. Bano bwebakebereddwa basangiddwa n’obwambe, ebiragalalagala n’ebintu ebikozesebwa okumenya amayumba.

Kyazuuliddwa nti omu ku bbo Sande yavunaanibwa omusango gw’obubbi omwaka oguwedde nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira. Poliisi egumizza abasuubuzi nti nga bali awaka yakufuba okulaba nti eyongera obukuumi bw’amadduuka gaabwe nga eyogeramu Poliisi ennawunyi wamu n’abo abali ku bigere.

Share.

Leave A Reply