Poliisi ekutte omukyala eyalimbye nti awambiddwa asobola okusinda omukwano n’omusajja omulala.

Margret Namusoke azuuliddwa poliisi olunaku lwaleero. Ono yakubidde bbaawe nti yabadde agenda mu lukiiko ku ssomero ly’omwana e Kasangati wabula obudde bwazibye nga talabikako nga n’essimu ye teriiko. Wabula oluvannyuma Namusoke yakubidde bbaawe ng’amugamba nti yabadde awambiddwa abasajja babiri nebamusobyako nebamusuula mu kibira.

Bbaawe yaguddewo omusango ku Poliisi ye Kyebando abatandise omuyiggo nga bakozesa essimu ye eyalaze nti ali mu Kampala, wabula yakomyeewo awaka Omwami namutwala ku poliisi gyeyagambidde nti yesimatudde ku basajja bano naddukira mu ddwaliro okwekebeza, Poliisi yawaliriziddwa okugenda ku ‘Clinic’ gyagamba wabula okutuukayo nga tanagendayo.

Wabula oluvannyuma yayogedde amazima oluvannyuma lw’okumuknya nti ye yabadde mu Serena nga yesanyusaamu n’omulenzi we omupya. Ono akuumirwa ku Poliisi ya Kira Road gyanagibwa atwalibwa mu kkooti.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply