Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 263 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omupoliisi akwatiddwa lwa kubba mmwanyi ku mudumu gw’emmundu

March 26, 2018 · Mubiru Ali

Police y'e Mityana ekutte omuserikale waayo abadde akulira Police post y'e Kakindu n'abantu abalala mukaaga (6) nga bano kigambibwa nti beekobaana ne bateega Loole eyali y'ettise emmwanyi z'omusuubuzi omu nebazibba ku mudumu gw'emmundu.

Omuserikale akwatiddwa ategeerekese nga Ssegawa Daniel n' abalala 6 nga bano kigambibwa nti baliko emmotoka eyali etambuza emwaanyi z'omusubuzi TUMUHIMBISE GENEVA gyebaateega ku mudumu gw'emmundu nebgibbako emwanyi ensawo kikumi mu ataano 150 nga bano baagiteeegera ku kyalo Wabikere  ekisangibwa mu ggombolola y'e Kassanda mu Disitulikiti  y'e Mubende.

Kyokka bano mmotoka olwamala okugiwamba nebagivuga yogaayoga nga bali ku kyalo Kakindu era nebatikkulako emmwanyi zonna.

Ssekamwa wa Police mu kitundu ekya Wamala,  Norbert Ochom akakasizza okukwatibwa kwa OC n'ebanne nga bano bantu ba bulijjo.