Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte agambibwa okutuga owa Boda Boda e Mengo

Poliisi mu Kampala ekutte agambibwa okuba nga yennyigira mu ttemu ly’owa Boda Boda eryakwatibwa ku katambi ka kkamera akatambula ku mikutu gya ‘Social Media’.

Mugisha John Bosco aka Mukiga yakwatiddwa olunaku lw’eggulo ekiro okuva e Nsiike 1, Ndeeba Rubaga Division mu Kampala. Mugisha avuddeyo nakiriza nti yeye ali mu katambi ne munne omulala gwebayita Young Mulo (atali muyimbi).

Mugisha agamba nti Young Mulo yattibwa abantu nga 3-7-2019 kubigambibwa nti yali abba piki piki. Mugisha agamba nti baali babbye piki piki e Mityana nga 2-7-2019 nebabalondoola okutuuka lwebabakwatira e Makindye, munne Young Mulo gyebamuttira, wabula ye Mugisha nasimattuka naddukira e Kabale.

Poliisi egamba nti Mugisha akwatiddwa emirundi mingi nga abba natwalibwa e Luzira ku misango egyekuusa ku bubbi.

Mugisha ne munne bagambibwa okuba nga batta Derrick Mulindwa omutuuze w’e Nabweru mu Nansana Municipality nga 30-June-2019 nga kati akuumirwa ku Poliisi y’e Katwe gyagenda okugibwa atwalibwa ku Old Kampala.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort