Poliisi efulumizza olukalala lw’abantu abafiiridde mu kabenje

Uganda Police Force evuddeyo n’olukalala lw’abantu abafiiridde mu kabenje enkya yaleero Tuleela eriko ennamba za Tanzania nnamba TH77 BVW / T433 nga kika kya Mercedes Benz bweyatomereganye bwenyi ku bwenyi ne Takisi ekika kya Toyota HiAce nnamba UBE 995C eyabadde eva e Sembabule Matete ngedda Kampala.
Poliisi egamba nti ddereeva wa Tuleela yabadde ayisizza ku ludda olukyaamu.
Abantu 14 bebakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje kano nga ku bano kuliko; Abakyala 5, abaana 2 n’abasajja 7.
Bano kuliko;
1. Nakalule shadia ow’e Kasambya , Matete Sub County Sembabule District.
2. Nankya Maimuna 70, w’e Kasambya , Matete Sub County Sembabule District.
3. Nakitto Maimuna 20 w’e Kasambya , Matete Sub County Sembabule District.
4.Musasizi Moses 28, Munnansi wa Burundi omutuuze w’e Bininkiliro Sembabule District
5.Magero Moses 49 ow’e Kasana Mawogola Sub County Sembabule District.
6. Mwanje Abubaker 40, Munnansi wa Rwanda ow’e Mateete town council Sembabule District
7. Kisawuzi Benard omwana wa myaka 10, ow’e Manyama B zone Mateete town council Sembabule District
8. Matuusa Sara 25, w’e Kasambya , Matete Sub County Sembabule District.
9. Katete Francis a 58, w’e Kasambya , Matete Sub County Sembabule District.
10 Mudiiba Sharim omwana omuwala 14, mutuuze w’e Salama Munyonyo Kampala District.
11. Natasha Rita aged 18, ow’e Bamwede LC1 Sembabule District.
12. Galambe Francis, 36 omutuuze w’e Buyoga, Kayunga Matete Sub County, mu Disitulikiti y’e Sembabule.
Omuntu omu ali mu mbeera mbi nnyo mu ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.
ASP MUHAMMAD NSUBUGA
PRO GREATER MASAKA

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

4 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

72 4 instagram icon