Poliisi e Busia enoonyereza kuyasse omuwagizi wa NRM
Uganda Police Force e Busia etandise okunoonyereza ku nfa ya DJ Polly Bwire 19 eyabadde ku mukolo gwa National Resistance Movement – NRM ogwokukunga obuwagizi ogwategekeddwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka n’abaana Balaam Barugahara mu Namungodi Town Council ku lwokutaano.
Abalala abalumiziddwa kwabaddeko Lawrence Owori ne Collins Ojambo 16 omuyizi owa S1 ku Namungodi Seed Secondary School.
DPC wa Disitulikiti y’e Busia Alice Kuka agamba nti omugenzi yafumitiddwa abantu abatanategeerekeka ku kakabaga ka NRM ku ssaawa musanvu ogwokumakya.
Akavuyo kigambibwa nti katandise oluvannyuma lwa Minisita Balaam n’Omubaka wa Samia Bugwe North okutuuka ku kabaga olwo abavubuka abamuwagira nebatandika okulwanagana n’abawagizi bamuvuganya John Paul Wandera.

