Police e Busunju eremesezza abawakanya okugikwatako

Police mu kibuga ky'e Busunju mu Disitulikiti y'e Mityana ewaliriziddwa okutulisa amasasi mu bbanga n'okukuba omukka ogubalagala mu kibinja ky'abavubuka ababadde bagezaako okulemesa omubaka wa Mityana ey'amaserengeta  Henry Kamya
Makumbi ne Judith Nabakooba okwogerera mu bantu b'e Busunju mu kaweefube ow'okwebuuza ku balonzi oba bagikwateko mu magombolola okuli Namungo,Ssekanyonyi ne Busunju era nga babadde basembyayo Busunju. 

Kaweefube ono bamutandikidde mu gomboloola y'e Namungo,Ssekanyonyi yogaayoga nga bali mu kibuga ky' e Busunju era eno abavubuka gyebatandikidde okwagala okulemesa ababaka bano okukuba olukungaana nga kino ky'ekiwalirizza Police okutulisa amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala. 

Bano babadde bawerekeddwako amyuka RDC omukyala Esther Lunkuse nga bwebatuuse e Ssekanyonyi newabaawo abaagala okuwakanya ekiteeso kino era Police n'ebalemesa .

Ye omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Mityana Judith Nabakooba mukwogera agambye nti bano abawoza togyikwatako tebalina mirimu beenonyeza byabwe era abantu baleme kubawuliliza.

                                                                  

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply