Palamenti esaanye eswaleko – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu n’Omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi nga bano Bannakisinde kya People Power – Uganda bavuddeyo Palamenti ya Yuganda okuvaayo netegeeza nga bweyewadde obuwumbi 10 nga zino buli mubaka wa Palamenti wakuweebwa obukadde 20 buli omu mu kaseera kano aka #COVID-19 nga Bannayuganda bangi bayagga nekyokulya.Hon. Kyagulanyi agamba nti kino kyabuswavu nnyo era nakweyagaliza nga Bannayuganda bangi tebalina kyakulya, balwadde bangi nga bafa nga n’amalwaliro getaaga kuyambibwa.Wabula Omukubiriza w’Olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yavuddeyo nalabula omuntu yenna obutoogera ku ssente zino era nasaba oyo yenna ayagala okubaaka kyazimanyako okumubuuza.

Share.

Leave A Reply