97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Owa NUP Sanya Kakooza Muhydin atwaliddwa kukeberebwa mutwe

Okuwulira emisango egivunaanibwa abavubuka ba National Unity Platform 32 mu Kkooti y’amagge e Makindye kutandise enkya yaleero naye nga ku bano 2 tebabaddewo.
Kkooti ngekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti etegeezeddwa nti Sanya Kakooza Muhydin eyatabukira mu Kkooti omulundi guli yatwaliddwa okukeberebwa obwongo balabe oba ategeera bulungi nga tebanatandika kuwulira musango. Katushabe Livingstone naye mulwadde muyi nga afuna bujanjabi. Okuwulira omusango kwongezeddwayo okutuusa enkya.
Bya Christine Nabatanzi

Leave a Reply