Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 234 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Poliisi ekutte abadigize mu Ssekukulu

December 27, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force y’e Katwe yakutte abantu 147 mu bikwekweto byeyakoze mu naku za Ssekukulu nga basangiddwa mu mabbaala okuli; Happy Boyz Namasuba, New Best Hotel Nateete n’endala nnyingi. Bano basangiddwa nga tebagoberera biragiro bya Ministry of Health- Uganda wamu n’ekiragiro kya curfew.
Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Katwe nga bavunaanibwa emisango okuli okukola ekikolwa ekiyinza okuviirako okusaasanya ekirwadde ekikambwe era nga olunaku lw’enkya nga 28-12-2020 bakutwalibwa mu kkooti.
Mu ngeri yemu Poliisi mu bitundu by’e Kira yakutte abantu 182 abasangiddwa nga bamenya ebiragiro ebyateekebwa Minisitule y’ebyobulamu.
Poliisi erabudde Bannanyini mabbaala okwewala okumenya ebiragiro ebyateekebwawo
Asp Luke Owoyesigyire
Deputy PRO KMP
27/12/2020