Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Owa 42 asibiddwa emyaka 60 lwakusiiga bazukulu be basatu akawuka akaleeta mukenenya

Omulamuzi mu kkooti enkulu e Luweero Anna B. Mugenyi asalidde Joseph Ssemuwmba 42 omutuuze w’e Kiyanda mu Makulubita emyaka 60 agimale mukkomera lwakusobya ku bazukulu be basatu okuli ow’emyaka 9, 10, ne 12 n’abasiiga akawuka akaleeta mukenenya.

Omulamuzi agamba nti Ssemuwemba yakozesa omukisa nti abaana bano bato nabatuusako obulumi wamu n’obulemu obw’oluberera.

Abaana bano balumirizza Ssemuwemba eyasooka okwegaana nga agamba nti baali bamuwayiriza. Oludda oluwaabi lwasabye Omulamuzi okuwa Ssemuwemba ekibonerezo ekikaabwe kuba yali akimanyi bulungi nti alina akawuka akaleeta mukenya.

Lawyer wa Ssemuwemba Brian Opolot yasabye omulamuzi okuwa omuwawabirwa ekibonerezo ekitonotono kuba ali mumbeera mbi era nga naye ali kuddagala ate alina abaana 7 wamu n’omukyala balabirira.

Omulamuzi yamusalidde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 20 kubuli musango gweyamusomedde. Yamusalidde emisango esatu.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort