Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 247 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Omwana eyakubwa amasanyalaze akwasiza abatuuze

November 22, 2018 · Mubiru Ali

Omwana eyakubwa amasannyalaze n’afa mu Kiganda zooni e Kawempe akwasizza ab’essomero lya Bright Future P/S n’abatuuze abalala babiri olw’okubbirira amasannyalaze ne gaviirako omwana okufa.

Steven Umarruoph 1, yakubwa amasannyalaze nga November 2, 2018 ku muzigo bazadde be we baali bapangisa mu Kiganda zooni oluvannyuma lw’okutakula ettaka ng’azannya n’akwata ku waya y’amasanyalaze agaamuttirawo mbulaga.

Kino kyaleetedde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze mu ggwanga okukola ebikwekweto ku bubbi bw’amasannyalaze obukudde ejjembe mu Kawempe bwekityo nekikwata omusomesa wa Bright Future Agatha Nabukenya oluvannyuma lw’omukulu w’essomero lino okudduka ng’alabye ab’amasannyalaze, oluvannyuma baakutte n’abatuuze okuli Asuman Mutebi ne Joseph Asimu olw’okuyisa waya mu ttaka ne babba amasanyalaze.