Omuwagizi wa Bobi Wine alojja ebyamutuukako

Alexandria Marinos, mukyala wa myaka 29 nga muwagizi wa People Power/ National Unity Platform omutuuze w’e Mbuya agamba nti enaku eziyise yakwatibwa abasajja abaali bambadde ebyambalo byabebyokwerinda wamu nabo abaali mu ngoye ezabulijjo abamugamba nti ba CMI nebamutwala mu kifo gyatamanyi nga bamusibye kantuntunu eyo gyebamutulugunyiza ebitagambika. Ono agamba nti abamutulugunya baali bamulanga kukuba nnyimba z’omukulembeze wa NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ye ggwagamba nti bamuyita omuyaaye.
Ono bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire, yategeezezza nti abamukwata bamusobyako nga kwebagasse okumusamba, okumukuba empi, okumukuba waya n’ebirala era nebamulabula obutakyogerako nti singa anakikola kajja kumujjuutuka oluvannyuma nebamusuula ku mabbali g’oluguudo e Kitintale owa booda booda weyamusanga namuyamba.
Ono agamba nti yavaayo nabaako beyanyumirizaako, nti era ku bbalaza abasajja nebadda buto bamutwale wabula nataasibwa abomuliraano abakuŋŋaana nebatandika okukwata obutambi ku masimu gaabwe, bano nebadduka. Ono agamba nti yagezaako okwemulugunya ku Poliisi y’e Mbuya Kinawataka okuggulawo omusango nti wabula abasirikale beyasanga ku Counter bagaana okumukolako nebaggyako amataala nebabulawo.
Wabula ye omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force, owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire asabye Alexandreos okugenda ku Poliisi ya Jinja Road aggulewo omusango ayambibwe.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply