Omulamuzi Owiny Dollo akakasiddwa ku bumyuka bwa Ssaabalamuzi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Akakiiko ka Palamenti akakakasa abantu abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga mu bifo kakakasizza omulamuzi Alfonse Owiny Dollo nga omumyuka wa Ssaabalamuzi omuggya. 

Owiny Dollo addidde omulamuzi Steven Kavuma mu bigere kubanga mu mwezi guno mwennyini mwagenda okunnyukira emirimu gya Gavumenti oluvannyuma lw’okuweza emyaka 75 egiwummula .

Akakiiko kano nga kakulirwa omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya katude enkya yaleero nekakakasizza n’abalamuzi abalala babiri okuli Omulamuzi Richard Buteera ne Omulamuzi Paul Mugamba abaalondebwa Pulezidenti Museveni okudda mu kkooti ensukkulumu.

Omulamuzi Owiny Dollo wa myaka 61 nga yeeyunga ku kitongole ekiramuzi mu 2018  ng’omulamuzi mu kkooti enkulu. Yaliko omulamuzi mu kkooti e Fortportal n’oluvannyuma n’abaako omulamuzi mu kkooti enkulu ekola ku misango gy’ensi yonna.

Owiny Dollo azze akola ku misngo egy’enjawulo naye ogwasinga okumwatiikiriza ennyo gwegwaliyo mu 2010 ogw’ebikolwa eby’obutujju mu ggwanga ebyakolebwa ku Kyaddondo Rugby Ground n’e Kabalagala mu Kampala ng’abantu balaba omupiira ogw’akamalirizo ogw’ekikopo ky’ensi yonna.

Share.

Leave A Reply