Omugagga asenze emmere y’abatuuze ku byalo 2 – Buyikwe

Abatuuze ku byalo Nkakwa ne Masugga mu Ggombolola y’e Ssi-Bukunja mu Disitulikiti y’e Buyikwe basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’omugagga Lwome Richard eyeeyita nnannyini ttaka kwe batudde okumala ebbanga okusenda emmere yaabwe yonna n’abagobaganya. 

Ettaka lino liwerako yiika bitaano (500) era nga abatuuze babadde balimirako ebirime eby’okutunda omuli Cocoa, Bbogooya, emiti egy’ensibo ng’emisizi wamu n’ebirala wabula nga omugagga ono yabazinduukiriza n’asenda ebirime byabwe nga era kati bakaaba Twawa nga Ntulege.

Bano bagamba nti kati boolekedde enjala kisannumbu ne bawanjagira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo abaddukirire kubanga abantu ababatigomya bagamba nti bava mu yafeesi ye .

Wabula omubaka wa Lwome akwanaganya ensonga z’e ttaka lino Badru Ssekiziyivu agambye nti kituufu basenze ettaka lino nti wabula bibadde bibiira era ng’ekyabakozesezza ekyo abatuuze tebabawa busuulu.

 RDC mu Disitulikiti  y’e Buyikwe Fred Bamwine, oluwulidde bino n’agenda misinde era n’alagira yenna ali emabega w’ekikolwa kino akwatibwe wamu n’okulabula okuggalira abapoliisi abayambako abantu nga bano okutulugunya bannayuganda.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply