Omu akwatiddwa e Kyotera lwa biccupuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi e Kaliisizo mu District y’e Kyotera Kasiita Godfrey ku bigambibwa nti abadde atandise okusaasanya ebiccupuli bya ssente mu kitundu kino.

Ono okukwatibwa kidiridde ebiccupuli bya ssente okutandika okutambuzibwa era nga Poliisi mu kunoonyereza yakizudde nti byabadde bitandikidde mu maka g’omukyala ow’emyaka 70 nga mutuuze ku kyalo Botera mu Kirumba Sub-county e Kyotera.

Ono yasangiddwa ne ssente za Uganda nga kuliko; 50,000 20,000 10,000 ne 5,000 nga ziweza emitalo 85.

Share.

Leave A Reply