Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,397 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Ab’e Ssembabule Ssaabaminisita abasuubizza bayimbi mu kifo kyeddagala mu malwaliro – LOP Mpuuga

October 26, 2023 · Mubiru Ali
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayambalira Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister nti bweyategedde nti atandise okulambula ebitundu ebyenjawulo okulaba emirimu gya Gavumenti bwegikolebwa nadduka za mbwa okwolekera Ssembabule okusisinkana Abakulembeze ba Disitulikiti nabategeeza nga bwabategekedde ekivvulu era nababuuza muyimbi ki gwebaagala abatwalire! ‘Omuyimbi gwemwagala gwendeeta.’ wakati mu kusoberwa kw’Abakulembeze.
LOP Mpuuga; “Oli yebuuza lwaki Ssaabaminisita abeera mu katemba buli kadde yandyagadde Abakulembeze ba Disitulikiti okubikirira ebitagenda bulungi nga ensimbi entono ezibaweebwa wamu n’obtabeera nabasawo bamala!”