Oluyitaayita mu kizinga Zanzibar

Nga bannakkoodikkoodi bamaze okwesolossa ekizinga Zanzibar nga bakozesa Emmeeri lugogoma ekirako ennyonyi  y’okumazzi, bayongera okwegazaanyiza ku kizinga kino nga balambula ebifo eby’ebyafaayo ate era ebyewuunyisa wamu n’okumanya ebikwata ku kizinga kino Zanzibar.

Baamanya nti;

Zanzibar ekolebwa ebizinga ebinene bibiri , Unguja ne Pemba nga mu bino mwemuli obuzinga obutono 55 obuliko abantu n’obutaliiko era nga ebyafaayo biraga nti Abaportugues bebazungu abaasooka okugoba ku kizinga kino olwo nebagobererwa Abawalabu eyo mu myaka gya 1700.

Nti ekizinga Zanzibar ne Tanzania byafuuka eggwannga erimu nga 23 – Kafuumuulampawu 1964 mu Tanganyika ne Zanzibar nemuvaamu Tanzania .  Wabula Zanzibar erina Pulezidenti waayo eyeetongodde so nga ate abeera mumyuka wa Pulezidenti wa Tanzania, erina Ssemateeka eyeetongodde, Bbendera,  Olukiiko lw’eggwanga olukulu, ababaka mu Palamenti ne ba Minisitas .

Ekizinga kino kirina ekibuga ekiyitibwa Stone City nga kibuga kya byafaayo nnyo era nga ebizimbe ebirimu byazimbisibwa mayinja, Lime ne Coral Reefs nga buno bwaggyibwa ku mbalama za nnyanja kyekikiyisa ekibuga ky’amayinja era ebizimbe bikadde bulala ebyazimbibwa ku mulembe gwa Sultan.

Bingi ebikwata ku kizinga kino byayongera  okugwa mu  ntanyeenya za bannakoodikkoodi nga muno mwemuli ;  ekizimbe gaggadde eky’ebyewuunyo (House of Wonders) ekikadde ddala ekyasooka okubeeramu ”Lift” era nga kyazimbibwa eyo mu myaka gya 1800, ennimiro z’obuwoowo gaggadde  ewasibuka buli kawoowo aka buli kika, ekifo awaakubirwanga essimu ez’emweru ate n’okuteeseza ku nsonga z’ekitundu – Jews Corner, ate ne Fort eyazimbibwa aba Portugues .

Bannange okutambula kulaba ……Ate n’oliyitaayita……….ebya Zanzibar tebiggwa malojja kubanga njolo ku byo byessikoonyeeko, tambulako olabe mwattu .

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply