Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,367 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Ssaabalabirizi Ntagali avumiridde ekya Kadaga okugenda mu ssabo

May 26, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Yuganda Stanely Ntagali avumiridde ekya Sipiika wa Palamenti ya Yuganda Rebecca Kadaga okugenda mu ssabo luno ggyo lya balamu .

Ku nkomerero ya ssabiiti eyise Kadaga yakyalira essabo erisangibwa ku lusoze lw’e Nhyenda ekiri mu Gombolola ye Nakigo mu Disitulikiti ye Iganga nga ateebereebwa okuba nti yali agenze kwebaza ba Jajja okumusobozesa okusigala mu kifo ky’obwa Sipiika wa Palamenti eyekkumi .  Kadaga nga mukulisitaayo mu kanisa eyabbulwamu abatukuvu mu Kampala , yeewozaako nga agamba nti ye yali akyalidde ba Jajja be ate mu ngeri endala kutumbula bulambuzi  .

Mu bubaka bwe obw’akawungeezi k’olwokusatu, Ntagali agamba nti Ekkanisa yabuzaabuzibwa amawulire agaalaga nti Kadaga yali agenze kwebaliza buwanguzi bwakudda mu kifo kye  .

Agamba nti abakulisitaayo bangi mu ggwanga baasabira Kadaga okudda mu kifo kye eky’obubaka bwa Palamenti ate n’okusigala nga Sipiika , era baasanyuka  nnyo nga  Katonda amugguliddewo enzigi ayongere okweereza bannayugnda .

Wabula Ssaabalabirizi n’awanjagira abakulisitaayo bonna naddala abali mu buweereza mu Gavumenti ne mu zibizinensi beeyise ekyo Katonda kyabeetaaza .