Okyalira ensiko olwo bwonofumbirwa Omunayigyeriya atabimanyi?! – Minisita Mutuuzo
Okyalira ensiko olwo bwonofumbirwa Omunayigyeriya atabimanyi?! – Minisita Mutuuzo
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Regis Mutuuzo avuddeyo nakittaanya nti empisa ez’obuwangwa okugeza ng’okukyalira ensiko tezirina kyezongera ku mwana muwala era zetaaga okuddibizibwa mu bunnambiro.
Mutuuzo agamba nti okukyalira ensiko tekulina yadde kyekwongera mu bulamu bwa mwana Omuwala, tezikuuma bufumbo nti wabula omuntu kyeyetaaga mu bulamu ze ssente asobole okulabirira omwana. Mutuuzo agamba nti abaana balina kusomesebwa bintu bibayamba okusinga obulombolombo n’emikolo egitalina makulu gyebali.
Ayongerako nti omwana wandimukyazisa ensiko nafumbirwa omuntu atali Muganda ngono bino tabirabamu makulu yadde akatono. Agamba nti abaana abawala 25 ku 100 bebadduka mu masomero olwebyo ba Ssenga byebasomesa nga bikwatagana n’obufumbo ku myaka emito. Ono agamba nti abaana babaleke bakule besalirewo.
#ffemmwemmweffe

