Breaking
News: Gavumenti ewadde omuvunaanwa mu misango gyobutemu e Masaka Kamugisha Quraish Bannamateeka 2 bamuyambeko okumuwolereza nga bano kuliko Kaliba News: Omukama wa Tooro, Edward Rukidi Nyabongo I, alonze Bernard Tungwako nga Omuhiikirwa omuggya owa Tooro. News: Waliwo omulwanirizi weddembe avuddeyo nasuula emisanvu e Mpereerwe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gayaaza ngalaga obutali bumativu bwe
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 155 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Okyalira ensiko olwo bwonofumbirwa Omunayigyeriya atabimanyi?! – Minisita Mutuuzo

February 21, 2026 · Radio Simba

Okyalira ensiko olwo bwonofumbirwa Omunayigyeriya atabimanyi?! – Minisita Mutuuzo

Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Regis Mutuuzo avuddeyo nakittaanya nti empisa ez’obuwangwa okugeza ng’okukyalira ensiko tezirina kyezongera ku mwana muwala era zetaaga okuddibizibwa mu bunnambiro.
Mutuuzo agamba nti okukyalira ensiko tekulina yadde kyekwongera mu bulamu bwa mwana Omuwala, tezikuuma bufumbo nti wabula omuntu kyeyetaaga mu bulamu ze ssente asobole okulabirira omwana. Mutuuzo agamba nti abaana balina kusomesebwa bintu bibayamba okusinga obulombolombo n’emikolo egitalina makulu gyebali.
Ayongerako nti omwana wandimukyazisa ensiko nafumbirwa omuntu atali Muganda ngono bino tabirabamu makulu yadde akatono. Agamba nti abaana abawala 25 ku 100 bebadduka mu masomero olwebyo ba Ssenga byebasomesa nga bikwatagana n’obufumbo ku myaka emito. Ono agamba nti abaana babaleke bakule besalirewo.
#ffemmwemmweffe