Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 416 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Omusirikale wa UPDF eyawummula Steven Ainomugisha amaziga gamuyiseemu…

February 21, 2026 · Radio Simba

Omusirikale wa @UPDF eyawummula Steven Ainomugisha amaziga gamuyiseemu nga mbega wa Uganda Police Force amulumiriza ku misango okuli okusobya ku muwala atanetuuka wamu n’okukusa abantu.
Detective Sergent Livingstone Mukalazi 50, bweyabadde awa obujulizi bwe mu maaso g’Omulamuzi Susan Okalany owa Kkooti ewozesa ba kkalintalo, yategeezezza nti wabula omuwala agambibwa okusobezebwako Ainomugisha yagaana okukeberebwa abasawo ba Poliisi okuzuula oba nga ddala yali akakiddwa akekinyi.
Mukalazi yayongeddeko nti bwebaali ku Poliisi ya Lira East waliwo omukyala omulala Rashida Adong eyavaayo nalumiriza Steven okumwekakatikako nti wabula bweyaddukira ku Poliisi nga 7-June-2021 teyafuna kuyambibwa.
Ainomugisha alumiriza Abasirikale ba Poliisi abagenda ewewu okwaza ennyumba ye nti babba ebintu bye okuli; ekyapa ky’ettaka, kkaadi za motoka, amasimu n’ebirala.
Ainomugisha era yalumirizza Mukalazi bweyali amukwata yeyita w’amaggye nti era ono yeyabba kkaadi za motoka ye wamu n’ekyapa.
#ffemmwemmweffe
Omulamuzi omusango ya