BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Okwogera kwa ssaabasajja kabaka nga aggalawo ttabamiruka w’abakyala

Okwogera kwa ssaabasajja kabaka nga aggalawo ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ku hotel Africana nga 8 may 2019
“Okusooka okusiima ennyo okubeerawo wano era tusanyuse nnyo okulaba nti muzze mu bungi nnyo bwemuti.
Buli mwaka twesunga okwetaba mu nkungaana nga zino zemuteekateeka ku nsonga ezenjawulo ezinaasobozesa abakyala okwenyigira mu nkulaakulana y’amaka, emirimu n’eggwanga lyaffe okutwalira awamu, era tujja kwongera nnyo okuwagira n’okwenyigira mu nteekateeka zino.
Tutegedde bulungi ensonga y’obulamu obulungi nga bweri enkulu nnyo mu kunyweza enkulaakulana y’abakyala. Omuntu omulamu obulungi yasobola okwetaba mu nkulaakulana y’eggwanga era nokuba nga alabirira abaana, ensonga eno nkulu era tugiwagira nnyo.
Enkulaakulana eyo tujja kujituukako nga ffenna tuvuddeyo okwatuukiriza abo bonna abenyigidde mu kutyoboola eddembe ly’abaana abawala, mu maka, mu masomero ne ku mirimu, eratukubiriza abakyala obutasirika nga bakyala bannammwe bali mu kizibu eky’okutulugunyizibwa n’okubonaabona mu ngeri ez’enjawulo.
Tukimanyi bulungi nti abaana baffe bangi abawala bayisibwa bubi nga banoonya emirimu era zino ensonga zituuka bulungi ku bakulembeze naye tebafuddeyo okuteekawo amateeka aganaakola ku mbeera eyo era n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Kinakuwaza nnyo okuwulira okweyongera kw’abakyala abattibwa, abalala babonaabona mu ngeri ez’enjawulo, era wano wetwebuuza nti abantu baffe banaddukira wa okutaasibwa embeera nga zino.
Twongera okwewuunya nga Poliisi egenda mu maaso n’okunoonyereza naye nga okunoonyerea okwo tekukoma, ate nga ebivudde mu kunoonyereza nga tebyanjulwa era tewali abimanya.
Ensonga ng’ezo nendala ezirinnyirira eddembe ly’abakyala era nga zituuka n’okulemesa enkulaakulana zetaaga zikolebweko mu bwesimbu abantu baleme kuggwamu essuubi eri abakulembeze baabwe n’abantu abakuuma eddembe.
Nga maliriza njagala okwebaza ennyo abategesi b’omusomo guno olwaleero era nammwe mwenna abagwetabyemu”.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply