Okukola n’okutunda amazzi ga Yaket kuyimiriziddwa

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kikutte kkampubi ya Yaket International Limited bakwatiddwa nga bebalama okukozesa Digital Tax Stamps Regulations mu kiseera kino ekya COVID-19 Lockdown.Ekitongole kya URA Domestic Taxes Enforcement Unit, nga kikolera ku bujjulizi obwakiweereddwa kyatuuse ku kkolero lino gyebasanze abakozi nga bakola wamu n’okupakira amazzi agatalina stamp.Bano era bongedde nebazuula nti Kkampuni eno ebadde erina production lines bbiri nga zifulumya amazzi agatalina stamp, emotoka endala bbiri zisangiddwa ku kubo nga zitwala amazzi gano n’endala 7 zisangiddwa mu factory nga zitikka amazzi okugatwala mu katale.Kkampuni eno era eremereddwa okulaga ebiwandiiko ebirina okubeera mu Kkampuni esasula omusolo gwa VAT wamu ne Excise Registration Certificate.Abantu 4 bebakwatiddwa era nebagulwako emisango, ba ddereeva b’emotoka bagaaniddwa okutwala amazzi. Okukola wamu n’okutunda Yaket Mineral Water kuyimiriziddwa mbagirawo.Awakolerwa amazzi wagaddwa ne sitoowa biteekeddwako seal. Depo bbiri e Kireka nazo zisangiddwa nga zitunda amazzi ga Yaket agatalina stamp.Amazzi agakwatiddwa ku motoka wamu nago agasangiddwa mu sitoowa gabalirirwamu akawumbi kamu mu obukadde lwenda nga gasuubirwamu omusolo gwabukadde 569.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply