Ogwababaka ba NUP guddamu nga 29-Sept

Omulamuzi wa Kkooti esooka e Masaka Grace Wakoli olunaku olwaleero azizzaayo Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Party – NUP Ssegiriinya Muhammad ne Allan Ssewanyana mu kkomera e Kigo ku alimanda okutuusa nga 29-Sept-2021 bwebanaddamu okuwulira emisango gwabwe saako n’okumanya wa Gavumenti wenaaba etuuse mukunoonyereza ku misango gino.
Omuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka avuddeyo nategeeza omulamuzi nga bwayongeddeko emisango emirala 2 nga Gavumenti egamba nti bano n’abalala abatanakwatibwa wakati w’omwezi gwa January ne August 2021 benyigira mu kutta abantu e Masaka n’ebitundu ebirala eby’eggwanga.
Birivumbuka ategeezezza Kkooti nti bakyakola okunoonyereza era nasaba Kkooti eyongereyo okuwulira emisango.
Munnamateeka w’Ababaka Shamim Malende ategeezezza Kkooti nti Gavumenti yaddembe okwongerako emisango gyonna gyeyagala nti wabula eveeyo enoonyereza bulungi okuzuula abatemu abatuufu era nategeeza nti okukuumira Ababaka mu kkomera kuba kujjako abantu baabwe bebakiikirira mu Palamenti eddembe lyabwe eryokukiikirirwa. Ayongeddeko nti bano balina ebirwadde ebibabala embiriizi nga betaaga obujanjabi obw’enjawulo.
Ye Omubaka Ssewanyana avuddeyo nasaba Munnamateeka we ategeeze Famire ye nti emutwalira eddagala lye mu kkomera e Kigo.

Add Your Comment