Obwakabaka busaasidde Omutaka Katende Natigo Katikkiro wa Ndugwa omukulu wEkika kyOlugave, olwokufiirwa muwala we Edith Katende, abadde mukyala
🎵 Obwakabaka busaasidde Omutaka Katende Natigo Katikkiro wa Ndugwa omukulu w’Ekika ky’Olugave, olw’okufiirwa muwala we Edith Katende, abadde mukyala w’amyuka Omwogezi wa National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro.
Oweekitiibwa Noah Kiyimba, Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, akyaddeko mu maka g’Omutaka Katende Natigo e Nankulabye okumukubagiza olw’ekikangabwa kino wamu n’okutuusa obubaka bwa Katikkiro obw’okusaasira.
Minisita Noah Kiyimba anakuwaliddeko omutaka Natigo n’agamba nti omuzadde okuziika omwana we kinakuwaza nnyo era kireeta ennyike y’amaanyi kubanga essuubi ly’omuzadde liri mu mwana.
Agamba nti ennaku zino obulwadde obutasiigibwa bwegiriisa nnyo era kikulu abantu okwekebeza bamanye bwe bayimiridde yadde tebannalwala. Endwadde okuli kookolo, ne sukaali, zifuuse zi namutta era abantu basaana okuzirabuukirira naddala nga beekebeza.
Asinzidde wano n’asaba Gavumenti eteeke eby’obulamu ku mwanjo okugeza; okuteeka ebikozesebwa mu malwaliro bannayuganda bafune obujja

