Nusura Tiperu awangudde akamyufu ka NRM aka Arua Minicipality

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Nusura Tiperu awangudde abantu abalala 7 mu kamyufu ka NRM akokusunsulamu anavuganya mu kalulu kokuddira omugenzi Abiriga mu kifo ky’omubaka wa Arua Municipality. Tiperu alangiriddwa Ssentebe wa kakiiko k’ebyokulonda aka NRM Tanga Odoi nga awangudde n’obululu 1798.

Addiriddwa Swadik Angupale n’obululu 1443, Jackson Atima 1362, Aluma Muhamad 183, Simon Ejua 118, Godfrey Obiga 91, Khalifan Mohamad 59, ne John Lematia 20.

Tiepru yebazizza abalonzi olw’okumusaamu obwesige nagamba nti ateekwa okuwangulira NRM ekifo kino. Ye Atima abadde ow’okubiri agamba nti ye ebivudde mu kalulu tabikiriza kuba abalonzi bangi baganiddwa okulonda.

Share.

Leave A Reply