Natukunda teyaffa lwakuggyamu lubuto – Police

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi evuddeyo netegeeza ebyavudde mu ‘autopsy’ eyakoleddwa omusawo wa Uganda Police Force byoleka nti Mwana muwala eyali asoma obusawo Clare Natukunda, eyafiira mu maka gamuganzi we wiiki eyise e Lugoba mu Kampala bwataafa lwa kuggyamu lubuto wabula yafa olw’olubuto olwali lukulidde mu nseke.
Amawulire agasooka okufuluma galaga nga Natukunda bweyafa nga aggyamu olubuto olw’emyezi ebiri ekitali kituufu nga bakijja kukuba nti teyadda waka waabwe nga bagaddewo amatendekero.
Natukunda nga abadde muyizi mu ttedekero lya International Paramedics Institute ku Masaka Road, yatandika okuvaamu omusaayi, okusesema wamu n’obulumi mu ndira oluvannyuma lw’eddakiika 10 naafa.
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police agamba nti akyalinda DPP kubawabula ku misango ki egirina okuvunaanibwa muganzi we Crespo Jjunju.

Share.

Leave A Reply