Nalukoola abajulizi ba Nambi tojja kubakunya – Kkooti
Kkooti mu Kampala egobye okusaba kw’Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Elias Nalukoola Luyimbaazi kweyataddeyo ngasaba emukirize okubuuza abajulizi Bamunnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Faridah Nambi baleese okulumiriza Nalukoola nti yenyigira mu mivuyo egyali mu kalalu aka March 13, 2025, Nalukoola, mweyawangulura n’obululu 17,764 ye Nambi nafuna 8,593.
Nambi agamba nti Nalukoola yabba akalulu nakatagga, ssaako okutiisatiisa abalonzi, okunoonya akalulu ku lunaku lwokulonda mu bifo awolonderwa nebirala.
#ffemmwemmweffe

