MW. KIBALAMA ADDUSIDDWA MU DDWALIRO E BOMBO

Pinterest LinkedIn Tumblr +
 
Moses Nkonge Kibalama omu kubatandikawo ekibiina kya National Unity, Reconciliation and Development Party (NURP) ekyafuuka National Unity Platform addusiddwa mu Ddwaliro e Bombo nga ali ye mbi. Kigambibwa nti yatwaliddwayo akawungeezi keggulo nga atawanyizibwa ekirwadde kya Puleesa.
Mmeeya w’eggombolola y’e Gombe Kibalama gy’abeera, Ronald Kasirivu agamba nti Bawala ba Kibalama babakubidde essimu nga bagamba nti embeera ye yeeraliikirizza kwe kumuddusa mu Ddwaaliro ly’amaggye e Bombo okufuna obujjanjabwa.
Share.

Leave A Reply