Mutabani wa Tanga akakiiko kamuggyeeyo
Akakiiko ka National Resistance Movement – NRM akateekebwawo okugonjoola okwemulugunya ku byaava mu kulonda kw’ekibiina kwasazizzaamu okulondebwa kwa Mutabani wa Ssentebe w’Akakiiko kyebyokulonda aka NRM Dr. Tanga Odoi, Collins Odoi ku bwa Ssentebe bwa NRM Youth League, Brenda Kiconco, eyateekayo okwemulugunya yayanirizza ensala y’Akakiiko kano nategeeza nti betegefu okuddamu okwenyigira mu kalulu.
Akakiiko kalagidde nti Dr. Tanga talina kwenyigira mu kalulu akagenda okuddamu okukubibwa.

