Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 111 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Museveni alagidde okunona bannayuganda abali e S. Sudan

July 12, 2016 · Mubiru Ali

Newankubadde nga amawulire agava mu Sudan ey’amaserengeta naddala okuva mu kibuga Juba awali okulwanagana galaga nti embeera egenda ekkakkana, Pulezidenti Museveni awadde ekiragiro eky’okuggyayo bannayuganda bonna abali mu ggwanga lino .

Kino kivudde ku kulwanagana okwazzeemu okubalukawo olwokutaano lwa ssabbiiti eyise wakati w’abajaasi ba Pulezidenti Salva Kiir nab’ omumyuka we asooka Dr. Riek Machar omufiiridde abantu abali mu 300 .

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo agamba nti Pulezidenti Museveni awadde ekiragiro bannayuganda abali mu bitundu ; Nisitu, obukiika kkono bw’omugga Kiyira mu maserengeta ga Sudan bakomezebwewo okwa boobwe