97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Munoonye akalulu mu ngeri eyobuvunaanyizibwa, temwevuma – NUP EMC

Ekibiina kya National Unity Platform olunaku lweggulo kyatuuzizza olukiiko wakati wa Bannakibiina 2 abegwanyiza ekifo ky’Omubaka omukyala owa Kampala okuli Omubaka aliyo kati Hon. Shamim Malende wamu ne Sipiika w’Olukiiko lwa Kampala Capital City Authority – KCCA Hon. @Zahara Luyirika oluvannyuma lwembeera yokusiiga enziro okubalukawo mu bawagizi baabano.
Bano bombi basabiddwa okwenyigira mu kunoonya akalulu okwobuvunaanyizibwa okutaliimu kummetta mulala nziro yadde okuvuma.
Ekibiina era kyasabye abawagizi baabano okubeera nempisa. Kko Akakiiko aka Election Management Committee kalabudde nti singa effujjo lino ligenda mu maaso tekajja kulonzalonza kusuula bbali oyo anasangibwa nti yeyenyigiddemu era nga okulabula kuno kugenda eri nabalala abegwanyiza kkaadi z’ekibiina.
Olukiiko lwetabiddwamu omumyuuka w’Omukulembeze wa NUP owamasekkatti Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi, Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya, Hon. Shamim Malende, Hon. Zahara Luyirika ne Harriet Chemutai Ssentebe wa EMC.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply