Munnamawulire Dean Lubowa Ssaava alagiddwa okusasula engasi yabukadde…
Munnamawulire Dean Lubowa Ssaava alagiddwa okusasula engasi yabukadde 4 oluvannyuma lwokusingisibwa omusango gwokuddukanya TV ku mutimbagano nga talina layisinsi ekikontana n’amateeka agafuga empeereza ku mayengo gebyempuliziganya.
Ssaava nga yatandikawo TV10 Gano Mazima, yasingisiddwa omusango gwokuddukanya omukutu gwa TV ku mutimbagano nga tafunye lukusa lwa kitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission (UCC).
Okusinziira ku Kkooti kigambibwa nti Ssaava yatandikawo omukutu gwa TV ogwokumutimbagano wakati wa November 2018 ne September 2025 nga tafunye lukusa kuva mu UCC.
Yalagiddwa okusasula engasi yabukadde 3 olwokukola omulimu nga talina layisinsi, emitwalo 50 okukola mu bumenyi bw’amateeka nemitwalo 50 zakuzimuula kiragiro ekiri mu mateeka ekyamuweebwa UCC.
Singa analemererwa okusasula ssente zino wakusibwa omwaka mulamba wabula nga basalako ebbanga lyamaze ku alimanda. Kkooti era yalagidde UCC okubowa ebyuuma byonna byabadde akozesa okuli: Kkamera, emizindaal


