Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Munnamateeka Ysuf Mutembuli yegasse ku NRM

Munnamateeka Yusuf Mutembuli, nga Munnakibiina kya Democratic Party Uganda nga yesimbawo kko ku tiketi ya DP nawangulwa Nagomu Musamba Moses mu 2016 avuddeyo neyeyambula ebifo byonna byabadde nabyo mu Democratic Party Uganda – DP wamu ne People Power – Uganda neyegatta ku kibiina kya National Resistance Movement – NRM nga era ayaniriziddwa Omumyuuka wa Ssentebe ow’ebuvanjuba owa NRM Capt. Mike Mukula.
Mutembuli agamba nti Ekibiina ekituufu kirina okubeera n’ekigendererwa na ddi lwebalina okukikola wabula DP alaba ekyabuzaayo emyaka 50 okutuuka mu state house.
Ayongeddeko nti yagezaako People Power Our Power eky’Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine neyesanga nga bali ku kyakukuba masepitti gokka nti era bweziba kiraabu bano bakyasambira mu bannambalujega so nga NRM eri mu Kikopo kya babinywera. Ono ayongeddeko nti NRM eyinza obutaba 100 ku 100 naye agiwa 80 ku 100.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort